genius omuzira weetunulemu şarkı sözleri

Weekuba obukonde mu bufuba nga weejaga N'odda ku bantu n'owewa n'obapima pima Okyeyisa otyo naye ensi eri kugunjula (Josh King) Genius Omuzira Kati kino kimanye, Ssi gwe wa kitalo asoose Nkulaba omera ku bantu naye, Weetunulemu Bw'owulira nti emirembe ngalo, Muli okirowooza ko ki? Nze kyenva nkugamba, Weetunulemu Aaah aah ne bw'obeera kanyama nga tomegga olerula Lw'olifa ssi gwe agenda okwesitula K'obe muwanvu nga teweetaaga kukangabala Manya tosobola kulengera binaaba wo nkeera Okulengezza abantu osaanye obeeko w'okoma Tojudginga katabo lwa ddiba nga tonnakasoma Okuduula n'okujerega tobifuula mugano Era otegeere nti ekisuula omuntu kitono Ab'amalala ensi ebagabana nga bw'esanze Nga oyagala ekugondere ba wa mpisa mwetowaze Bye weekaninkirira abaabisooka mu baazaawa Kati nno funa minzaani weepime mu obenkana wa Te twakalaba ba naggwano abatagambwa ko Emirembe ngalo tuula okirowooze ko Abakuwaana n'ogaziwa magoma gavugira aliwo Gwe linda kulaba nga bye bakwagala ko biwedde wo Kati kino kimanye, Ssi gwe wa kitalo asoose Nkulaba omera ku bantu naye, Weetunulemu Bw'owulira nti emirembe ngalo, Muli okirowooza ko ki? Nze kyenva nkugamba, Weetunulemu Yadde oli mulungi mweru nga wenna otiba butibi Ekisiikirize manya olina kiddugavu nga ate kibi Sigaanyi weyonja onaaba buli kaseera Kiki ekiddugaza towel nga ogyesiba otukula? Thermometer ya degree kikumi ekola mu nkwawa Gwe olina kamu kokka naye weenyumya n'otunyiwa Kuva lwe nayiga nti ensimbi tezizza bulamu Ne nsala omuliro kw'ebyo ebitwemaza mu Weetwala okuba nti oli wa higher class Tuuka ko mu ggwanika oba muli mu special place Ku ba byomera abafiira mu bugagga obutokomoka Olaba ani gwe basibirira emmaali ye nga bamuziika? Gwe ajojobya abantu nga oggya obabba ko amataka Tubuulire qabr obugazi ecre bapima mmeka? Naggagga olina emmotoka nnyingi ewuwo Kiki okugenda ku kitanda w'osula otambula wo? Kati kino kimanye, Ssi gwe wa kitalo asoose Nkulaba omera ku bantu naye, Weetunulemu Bw'owulira nti emirembe ngalo, Muli okirowooza ko ki? Nze kyenva nkugamba, Weetunulemu Leka kulowooza nti oliba wa maanyi lubeerera Eno dunia tuyita mu buyisi ssi ya kukungula Gwe omulogo ensi gw'ekungiriza bw'otagooka Tolowooza nti toligenda b'otta gy'obasindika Toŋoola muntu lwa kikula oba lwa ndabika Ssi gwe afulumya calendar y'omutonzi ey'entegeka Ba wantono obakka ko n'ojooga ne weerabira Nti be balikuzinga nga ba masebbuto basumagira Ogwo omumwa gw'otafuga buli muntu n'ogeyengula Ninze kulaba nga bakusibye akaba oba gwogera Akuumibwa ekikungu n'olagira abalala battibwe Gwe twakuva ko twasigala kunyenyeza mitwe Naye manya te twakalaba abatagambika ko N'olwekyo weekube mu torch nga okyali ko Ensi ekutadde ko eriiso lwa kuba ekyakuterese Tolaba ennyanja okuteeka n'olowooza nti ggoonya zikkuse
Sanatçı: Genius Omuzira
Türü: Belirtilmemiş
Ajans/Yapımcı: Belirtilmemiş
Şarkı Süresi: 3:15
Toplam: kayıtlı şarkı sözü
Genius Omuzira hakkında bilgi girilmemiş.

Fotoğrafı